Typecraft v2.5
Jump to: navigation, search

Corpus:EBIRUNGO BY’OBUWANGUZI BIRI MU GGWE: Bw’osiga emmwanyi tokungula binyeebwa

Source information
Source {{{source}}}
Author/Creator/Speaker(s) Medadi Erisa Ssentanda
Editor/Recorded by/Broadcaster Medadi Erisa Ssentanda
Title EBIRUNGO BY’OBUWANGUZI BIRI MU GGWE Bw’osiga emmwanyi tokungula binyeebwa
Original language {{{Olanguage}}}
Date/Place 2011
Volume/Pages 1-54
Publisher ssentanda
Translator ssentanda
Type book
Annotator Medadi Erisa Ssentanda
Contributor Medadi Erisa Ssentanda
Corpus translator {{{corpustranslator}}}
Link to the annotated dataset {{{link}}}

Ffenna twatonderwamu eggero ly’ebirungo eby’omuwendo ebitusobozesa okuwangula buli mbeera gye tuyitamu mu bulamu. Ebimu ku birungo ebyo bey bino: amagezi, okutegeera, obwegendereza, obwekengeze, obugumiikiriza, obunyiikivu, okwagala, obutukuvu, obutuukirivu, obuwulize, obwetangize, obukozi, obukwatampola, n’ebirala. Omuntu nga ky’ajje azaalibwe alina okugenda ng’ayolekebwa obukulu bw’ebirungo ebyo ng’aweebwa n’ebyokulabirako by’abantu abakozesezzanga ebirungo ebyo ne bawangula. Nga bwe kiri nti mu buvubuka mwe mubeerera emikisa gy’okusigibwamu ensigo eyinza okuba nga yalema okusigibwa mu buto n’eroka, ekitabo kino kirina ensigo gye kiyinza okukusigamu ggwe omuvubuka n’osobola okuwangula mu bulamu bwo mu nsi.

OKUWONGA
Ekitabo kino nkiwonga eri bazadde bange: Omw n'Omuky Eric ne Mary Mukasa. So era siyinza kwerabira Sseŋŋange Omuky Betty Kasule Nambuubi, abafubye ennyo okunsomesa, okuŋŋunjula, n’okunnambika ne ntuuka n’okufuna obusobozi okugabana naawe ebiri mu kitabo kino.

ENNYANJULA

Ffenna twatonderwamu ebirungo ebirimu obusobozi okutuwanguza okutuuka ku ekyo buli omu kye yeegomba. Kya mazima nti ffenna ebigero by’ebirungo nga obunyiikivu, okwagala, obugabi n’ebirala tetubyenkanya naye ate ekisanyusa kiikino: ffenna twatonderwamu ekirungo ky’okufuba kye tusobola okweyambisa okwongera omuwendo ku bigero by’ebirungo ebitulimu. Awo nno twetaaga bwetaazi kwezuukusaamu birungo ebyo; ne tusobola okuwangula mu byonna bye tukola.

M.E.Ssentanda
.






















ENNYINGO I

EBIRUNGO BY’OBUWANGUZI BIRI MU GGWE
Bw’osiga emmwanyi tokungula binyeebwa

Mu nsi muno abantu bangi bawanguzi kubanga batuuse ku ebyo emmeeme zaabwe bye ziyaayaanira. Bw’omala osoma ku byafaayo byabwe ojja kwewuunya: anti nabo baaliko ekiseera we baali tebannamanyira nti ebisumuluzo n’ebirungo by’okutuuka ku buwanguzi byali mu bo. Baasooka bambi kubulubuutira na kuwammantira eyo nga buteerere. Kyokka olwamala okuzaawukirwa n’okukebuka nti baalinga baagala kukungula bye batasize ekyali kikutte obudde ne kibuta.

Kino kyandikaluba okukikkiriza nti kituufu. Era nange nkusemba! Wabula, bw’oganya ebirowoozo byo n’emmeeme yo okutegereza ku bigambo n’ebirowoozo bino onootenda nnyini eggero erikulimu!

Ebisumuluzo ebisinga obukulu eby’obuwanguzi biri mu bulamu bwo, biri mu kutegeera na kusooka kumanya “omuntu” ali mu buli omu ku ffe. Oli n’amala akugamba nti ekikufaananya nga bw’ofaanana oba nti embeera eyo gy’olimu, ggwe ozzenga ogyetondera wandyagala okumupacca oluyi. Naye nga tonnalowooza kukikola oba n’okulekera awo okusoma bino, sooka weeyongereyo.

Ffenna tukyawa omubbi. Naye abaffe, waliwo omuntu eyatondebwa nga mubbi? Nedda. Ebyo oyo abba by’azzenga yeemalizaako mu kulowooza ne mu kukola so oba ne mu kwogera bye bimufuula omubbi. Nze kawandiika bino ndi mukkiriza Omukristaayo, bwentyo nnyumirwa nnyo okusoma Bayibuli. Olumu ku nnyiriri ezinyuma mu Bayibuli luli mu Matayo 12:35, lugamba nti “Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi; nómuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe okukola obubi.” Ebigambo ebyo bitubagulizaako nti bye tukola n’ebyotwogera byandiba nga tebitugwako bugwi, waliwo we biva.

Ebyo bye tuwoza nti gundi atuuse ku buwanguzi oba nti afunye ekintu gundi kubanga: “Alina omukisa”; “Ewaabwe bagagga”; “Oyo yaloka bulosi”; … bya ppa! Bameka b’olabye abalekerwa ebyobugagga mu kifo ky’okubikulaakulanya ne babitunda? Bajja batya okukikola?

Lowooza ku bintu by’osinga okumalizaako ebirowoozo byo; kwe kugamba bintu ki by’olowoozaako ennyo? Sirikamu obiwulire muli; (wandibiwandiise nno) obirowoozaako mu bugenderevu oba mu ngeri ya kijjira? Ye bw’ojjirwa ebyo by’otandyagadde kulowoozaako okola otya? Ofunayo ekikuwugula oba ogenda mu maaso na ‘kuwoomerwa’? Bintu ki by’okkiririzaamu? Okikola mu bugenderevu nga olina ensonga? oba lwa kuba olaba gundi nga naye akkiriza bw’atyo? Bintu ki oba kintu ki ky’oyinza okugamba nti “Ekyo nze kwe nfiira!?” Lwaki olowooza bw’otyo? Ye abaffe osinga kwogerayogera ku ki? Ggwe wali olabyeyo asimba kasooli ate n’amulyako emiyembe?

Buli kintu ky’olowooza, ky’okkiririzaamu, ky’oyogerayogerako, so n’ebyo by’okola bye bikakasa era bye biraga/bye byoleka ekyo ky’oli, ky’ogenda okuba oba ky’oliba wamu n’obuwanguzi obulamu obwo bw’olimu bwe bulikutuusaako. Ebigambo by’oyogera, ggwe kennyini bye weeyogerako: “Mukadde nze ebyo sibisobola!”, “Uh, abo baatuuka!”, “Nze omwavu ebyo nga mbiggya wa?”, “Munnange ffe ewaffe bwe tutyo….” N’ebyo era by’oyogera ku bintu ebikwetoolodde byoleka omunyusi oguli mu birowoozo byo ne mu ebyo by’okkiririzaamu bwe bityo nno ne bitegeereza ddala ekyo ky’oli. Awo nno oteekwanga bulijjo okwogera ku ebyo bye weegomba okutuukako oba okubeera. Na kino kikwatenga bulijjo nti olulimi lwaffe lutonzi; ebyo bye twogerayogera ku bulamu bwaffe, birwa ddaaki ne biba.

Omuntu ayitibwa omubbi, takeera bukeezi nkya n’amenya amayumba, nedda. Atwalira ddala ebbanga ng’ajja akula n’ekirowoozo ekyo, ng’akuba obufaananyi ng’amenye enju n’alabira ddala ng’afunye ekyo ky’ayagala. Essanyu eryo ly’atuukako ng’alaba afunye ky’alowoozaako, limusindika okubbanga era bw’atyo n’abeera omubbi kubanga ye alaba nga ku mbeera eyo, kw’afiira! N’oyo afubirira/alafuubanira okugaggawala, bulijjo yeeraba mu kifaananyi nga mugagga nnyini, ng’alowooza ku bugagga bulijjo n’engeri y’okubutuukako, era n’akola bw’atyo. Omugagga oyo ojja kumusanganga ng’ayogera ku bugagga era ng’akola bya kigagga, mwattu nga n’abantu baakolagana nabo bagagga era nga talyeyogerako nga omwavu!

Era awo okyawakana nti si gwe kanaaluzaala w’ekyo ky’oli?

Awo nno anaazimba “omuntu” we, asooka kwetegeera, nga bw’alowooza, nga bw’ayogera, ne nga bw’akola, n’ebyo by’agamba nti kw’afiira n’abyekebejja. Bw’amatira nga bye biibyo ng’oyo omuntu awedde.

Bw’onoolowoozanga nga omugagga ojja kukolagananga na bagagga, nga n’omubbi bwe yeeyunira ewali ebibanda bya banne. Kyekyo Omuganda kye yakenga n’akifunziza mu bigambo by’olugero nti, “Akajja obunaku keemanya…” ate era nti “Mbuulira gw’oyita naye…”

Kale nno faayo ku birungo ebyo ebikulimu, obitunuulizenga ekyo ky’oyaayaanira okutuukako ne ky’oyagala obeere.

Mu bulamu bwo obw’obuvubuka mw’oteekwa okulabira nti buli kye weegomba okutuukako olina okukirafuubanira so ate ne by’oyagala abaana bo babeere olina kubibabumbamu nga bakyali bato ddala. Ky’osiga ky’okungula.

ENNYINGO II

OBUTONDE BW'OMUNTU

Kinyuma nnyo era kisanyusa okwefumiitiriza era n'okutegereza ennyo ku ngeri gy'ozze ng'okulamu okutuuka w’oli kati!

Emyaka si mingi nnyo emabegako wali ggi oba akantu akasirikitu nga toyinza wadde okwenkana akabonero akasirisa akasemba ku sentensi eno. Okuva olwo watandika okukula mu lubuto lwa nnyoko; obwongo bwo bwatondebwa wamu n'omubiri gwo gwonna; ebitundu by’omubiri nga amaaso, emikono, amatu, ennyindo, engalo, amagulu, enviiri, n'ebitundu ebirala.

Olowooza ebyo by’oyinza okulaba ng’ebiteewuunyisa byajja bitya? Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli 139:14 ensonga eno agyogerako bw’ati: "Tewakisibwa mubiri gwange, bwe nnakolebwa mu kyama, bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi by'ensi." Omubiri gwo n’obulamu bwo Katonda yabitonda n’amagezi ge naawe olina kubikwata na magezi ge yakuwa. Byonna bye yayagala ofune yakutonderamu obusobozi bw’okubituukako okuva olubereberye. Yamanya nti olyetaaga emikono okukola, amagulu okutambula n’ebiringa ebyo.

Mu myezi mwenda giti egibalibwa ku ngalo, omuntu eyali akasirikitu, wali omaze okuvaamu omuntu asanyusa okulaba era n'ozaalibwa.

Bwe watuuka ku myaka nga 12 oba 14, waddamu nate okukula "amangu" era ng’awo we waviira mu ssa ery'omwana n'ofuuka “omuntu omukulu.” Ekiseera kino kye kiyitibwa Kaabuvubuka; kitwala ebbanga eriwerako okutuuka ku myaka nga 20 oba 25. Ekiseera kino si kyangu mu bulamu bw'omuntu; kiseera ekisoomooza; kiseera kya kugezesebwa so ng'ate kya mugaso nnyo, kubanga mwe weeyubulira okufuuka omuntu omukulu awedde emirimu. Era ekiseera kino omuntu yeetaagiramu okubuulirirwa, n'okuluŋŋamizibwa ate n'okwegendereza! Awatali kuluŋŋamizibwa mu kiseera kino, omuntu afuuka ekitagasa nga bwe tunaalaba mu nnyingo eziddako.

Mu kiseera kino era omuntu mw’atandikira okutebenkera obulungi mu birowoozo ng’alengera bulungi gy’alaga. Mu kiseera kino weetaagiramu okumanyira ddala ekkula lyonna erikulimu erikusobozesa okutambulira mu nsi n’okugifunamu byonna by’oyagala. Bw’oba ng’otegedde bulungi obusobozi obukulimu mu bujjuvu nga bwe bwakutonderwamu osobolera ddala okuwangula buli kimu.

ENNYINGO III
ENKYUKAKYUKA MU BULAMU BW'OMUVUBUKA

1) OMULENZI

Enkyukakyuka zitera okujjawo mu myaka egisooka egya "Kaabuvuka", gye myaka nga 12; oluusi abamu bakerewamuuko okufuna enkyukakyuka ezoogerwako wano okutuusa ku myaka14. Kino tekisaanye kweraliikiriza muntu kubanga kya bulijjo era tekirina kye kikosa bulamu bwa muntu.

Mu nkyukakyuka zino mwe muli eddoboozi okutandika okudoodooma. Wabula, tukimanye nti eriyo n’abatadoodooma maloboozi (nga si bawala), nabo babeera basajja era kino tekirina kye kiraga nti oli "musajja nnyo" okusinga abalala kubanga olina eddoboozi eridoodooma okukira abalala. Mu kiseera kino omulenzi atandika okumera eby'enkwawa, eby’omu mbugo, ne kabambaggulu. Ekirevu kyo emirundi egisinga kimera luvannyuma so ng'ate era eriyo abasajja abatakirina naye era mu ngeri y’emu bali nga bannaabwe. Ekifuba nakyo kitandika okugejja oba okugaziwa n'ennyama yennyini ey'omubiri etandika okusiba, n'ebinnywa byennyini ne binywerera ddala.

Mu kiseera kino era abalenzi we bafunira okutawaanyizibwa okw’amaanyi nga basikirizibwa abawala. Oli bw’alaba ku muwala awulira nga ayagala okumusemberera n’okubeera naye. Mu kiseera kino abalenzi batera n’okutandika okwerooterera.

Omuntu bw'atuuka mu kiseera kino asaana okwegendereza ennyo, okwerooterera kuli kumuleetera ebirowoozo “ebitali bya bulijjo” n'ayagala azuule ebyo ebiri mu kikolwa ekyo kye yafunye ng’ali mu kirooto. Kale nno oli bw’ateekomako oba okwefuga naddala mu kwewuluntawulunta kiyinza okumuzaalira emitawaana. Ekiva mu kwewulunta okwo mulimu okufuna endwadde ez’obukaba nga ne Siriimu kattira tabuzeemu; okufunyisa abawala embuto n’ebizibu ebirala. Ekiseera kino kyagala kwegendereza nnyo, nnyo, era wano okubuulirirwa okw’amaanyi we kwetaagisiza naddala okuva eri abakulu.

2) ENKYUKAKYUKA MU BULAMU BW'OMUVUBUKA OMUWALA

Enkyukakyuka mu bavubuka abawala ey'amaanyi ennyo era eyagala okukwata n'obwegendereza, y'eyo , “ey'okuzza omukono emabega” oba “ey'okwekoona akagere” abandi bagiyita “kugenda mu nsonga.” Omuwala yenna oluzza ati omukono emabega ng'omanya nti afuukidde ddala ‘omukazi.’ Ekireetera omuwala okwekoona akagere kiri nti, mu muwala mwatonderwamu amagi; kale nno buli mwezi wabaawo eggi eriba lirindiridde okwegatta n’enkwaso z’omusajja okusobola okuvaamu omuntu. Singa eggi eryo livaayo mu nnabaana ne litafuna kwegatta na nkwaso za musajja, liba lirina okufuluma ebweru. Ekyo kye kiyitibwa “okuzza omukono emabega.”

Embeera eyo ereetera omukazi okuvaamu omusaayi mungi ddala; abalala bafuna okulumizibwa mu ndira, abalala bamenyekamenyeka amagulu gonna, abamu babobbebwa emitwe so ng'ate n'abalala baggweeramu ddala amaanyi. Eriyo n’abalumwa olubuto, nga n’obulumi bwe bafuna tosobola kubunnyonnyola. Ababa batafunye kubuulirirwa ku mbeera eyo ey'ekikyala basiŋŋaana nga bambi basobeddwa mu bulamu bwabwe. Eri oyo atakimanyi , kino kya bulijjo era ennaku ziyinza okuyitawo nga 3 oba 4 n’olyoka odda mu mbeera yo eya bulijjo. Kino kibaawo buli mwezi era ebbanga oli ly’amala likyukakyuka okusinziira ku mubiri gwe nga bwe guli.

Ggwe omuwala atuuse mu kiseera ekyo oteekwa okwegendereza; singa kakutanda ne weegatta n'omusajja manya nti ojja kufuna olubuto oba okuwakankula endwadde z’ekikaba nga ne siriimu/mukenenya mwomutwalidde. Newankubadde ng’okusikirizibwa abalenzi kuba kungi mu kiseera kino, naye osaanye weekomeko era weegendereze okutuusa nga weetegese bulungi ku nsonga eyo. Olina bulungi obusobozi obukusobozesa okwetangira okusendebwasendebwa ‘n’amabbabbanyi’ agayinza okukukwata.

Ekirungo ky’okwetangira wano kyetaagisa nnyo, ate nga ekirungi kiri nti Mukama yakikuwa.

Mu nkyukakyuka endala mwe muli amabeere okusuna, ekiwato okugejja, eddoboozi okukyuka n’endala.

Ezo zonna enkyukakyuka ze tulabye nsonga za butonde ezijjawo okutegeka omuwala okusobola okumufuuka omukyala atuukiridde.

Tulaba nti enkyukakyuka ezo zonna za nsonga, anti ze zireetera abalenzi era n'abasajja bonna okutwaliza awamu okufuuka, "Bassibayita" - beeyita bokka. Ekyokulabirako omuwala bw'amera ebbeere omugaso ogusooka, guli nti, ebbeere eryo lya kuyonsa mwana n'ekirala liwunda ekifuba kye okusobola okusikiriza omusajja. Olususu lw'omuwala nalwo bwe lutyo, amaaso agaabwe nago ga njawulo nnyo okuva ku g’abasajja so ng'ate n'obubina obwabwe buba buneneko okukira obw'abasajja.

Noolwekyo ggwe omuwala osaana okweddako era n'okwegendereza omubiri gwo oleme kugwa mu ntata nga weeyisa mu ngeri esikiriza buli mulenzi oba buli musajja okujja gy’oli.

Omuwala bw’atuuka mu kiseera ekyo ng’atandika okusikirizibwa wamu n’okwegomba abalenzi olw'ebintu eby’enjawulo: enjogera, ttalanta (gamba nga okuyimba, okusamba akapiira); abalala batwalirizibwa lwa ntambula ya mulenzi, abalala magezi ag'omu kibiina, n'ebintu ebirala bingi. Kwe kugamba buli omu abeerako n’ekimusikiriza ku mulenzi.

Bw'oba ng'oyagala emirembe, okubeera n'empisa, era omuntumulamu wamu n'okwewala ebizibu ebitali bimu osaana okwegendereza engeri gy’oyambalamu. N’engeri zonna ze weeyisaamu oba n’okwogera bisaana kuba bya kwegendereza obuteesittaza banno. Wabula oli bw’aba ng’agenderera kusikiriza balenzi mu bugenderevu oyo okubuulirira okukwe kunaaba kulala.

Ggwe omuwala manya nti newankubadde nga wayinza okubaawo akaseera ako w'oyinza okuwulira ng'osikirizibwa omulenzi, osaana okwefuga era osobola bulungi okwefuga kubanga ekirungo ky’okwefuga kikulimu.

Ne bw’oba ng’owulira nti oli mwetegefu okufumbirwa, weebuuze nti musajja wa ngeri ki oyo ansikiriza okufumbirwa? Bwe kiba nti omusajja oyo akwagalako "mukwano" gwokka, weegendereze. Ne bw’aba ng’akutwala mu bufumbo, olina okwekakasa nti weeteeseteese bulungi. Kimanye nti mu bufumbo si “mukwano” gwokka gwe guliyo. Mulimu bingi nga okuzaala abaana; okulabirira abaana; buli omu okulabirira munne n’okuyambagana mu kwezimba mu ngeri zonna; n’obuvunaanyizibwa obulala bungi. Omuntu oyo ateekwa okuba nga ye mukwano gwo asinga mu bonna; oyo gw’osobola okweyabiza; gw’otokisa kintu; anaakuwuliriza mu byonna; asobola okuyimirirawo ku lulwo. Ebyo byonna okubituukako tebijja mulundi gumu. Oteekwa okuba nga otendekeddwa bulungi okusobola okubifuna mu munno mu ngeri ya mukwano. Waliwo n’okusoomoozebwa okulala okuli mu bufumbo, wabula ng’okukuvvuunuka olina kubeera ng’otendekebbwa bulungi. Awo nno obufumbo si bwa kupapira!

Kya mugaso okwegendereza mu kiseera kino era weekuumira mu mpisa nga, obwesigwa, obwegendereza, okutya Katonda, obugumiikiriza, obwetangize, ekisa, ennyambala eteesittaza, ate era fuba okulaba nti, ne bwe bw’oba ng’onyumya ne banno empisa zo tozisuula mu guluka. Ggwe ng’omuvubuka tosaana kweyisa mu ngeri ekuleeterezaamu kabampaane. Ebyo byonna olina okubituukiriza ne bwe kiba nti waliwo akaseera akatono ennyo oli w’ayagalira okukuggya ku ky'ozze weekuumiramu, olw'okwesanyusaamu mu kaseera akatono. Akaseera akatono kayinza okukwonoonera ebiseera byo byonna eby’omu maaso. Jjukira nti, "Eyaakaliddeko omwoyo mulondo". Nkiddamu wano nti ekirungo ky’obwetangize okirina, kikulimu noolwekyo kikozese lw’onoosobola okuwangula byonna.

Kisaanye kitegeerekeke nti omuwala bw'oba nga weewa ekitiibwa, abalenzi tebayinza kukuzannyirazannyirako. Oyo eyeewaayo oba eyeesowolayo mu bwegendereza okukutuukirira ateekwa okuba nga yeenywezezza, so ate naawe olw’okuba nti weegendereza, obeera osobola okukenga omuntu ayagala obwagazi okukusuuza “akayanzi” ko! Awo nno ekirungo kyo eky’enneeyisa n’okwefuga mu kiseera kino kye kinaakutaasa era kye kijja okukuwanguza byonna!

Omuntu ayinza okwebuuza nti, enkyukakyuka zino zirimu obuwanguzi bwonna mu bulamu? Yee, obuwanguzi mwebuli; anti tulabye nga enkyukakyuka ezo ze zituusa omuwala oba omulenzi okuva mu mbeera ey’obwana okutuuka mu mbeera ey’obuvubuka.

Ekiseera kino nga bwe tulabye kisoomooza nnyo nnyini. Omulenzi n’omuwala basaana okubeera abayonjo ennyo ddala. Obuteeyonja bulungi buviiramu okuwunya olusu oluyitibwa Kaabuvubuka. Bw’ba ng’onaaba bulungi osobolera ddala okulwanyisa olusu olwo. (Abo ababeera n’olusu olw’amaanyi nga terugenda mangu na ssabuuni, basobola okukozesa olujjula (ebbombo)).

Mu kiseera kino omuvubuka mw’alina okukozesereza ennyo ekirungo ky’obugumiikiriza n’obwetangize. Kino nkyogedde lwa nsonga nti olw’okubanga okusikirizibwa kw’okwegatta kuba kwa maanyi mu kiseera kino, oli bw’ataba mugumiikiriza ate omwetangize, asiŋŋaana ng’okusoma kumulemye. Kumulema olw’okuba nti asobola okufuna olubuto oba n’okumala obudde obungi mu kwegadanga n’ebiringa ebyo.

Obumu ku bukodyo obuyinza okukuyamba okuyita mu kiseera kino bwe buno:
1. Beera muggufu eri bakadde bo – bategeeze byonna ebikutuukako mu bulamu bwo basobole okukulambika mu ngeri y’okubivvuunuka
2. Weewale ebibiina by’abavubuka ebiyinza okukuwabya. Wano olina okukozeserezaawo ekirungo ky’obwekengeze n’amagezi n’osobola okwawula ebirowoozo ebirungi ku bibi.
3. Okubeera n’ebyokukola ebimala – n’otomala budde nga oli awo olera ngalo – buli lw’oba nga tolina byakukola, ojjirwa ebirowoozo bingi ebiwabya ebiyinza okukuggya mu kkubo eggolokofu. Wano we nsabira abazadde okuyamba abavubuka okubeera nga babeenyigiza mu byokukola ebizimba.
4. Soma ebitabo ebizimba; wuliriza pulogulaamu z’oku reedio ne ku ttivi ezizimba.. Nze nneekakasa bulungi nti omuntu alimu obusobozi okwawula ekirungi ku kibi, ne bwe kiba mu kitabo oba ku ttivi oba ku reedio.

Mu byonna jjukira nti, mu buvubuka bwo mw’osobolera okuzimbira obulamu bwo bwonna obw’omu maaso. Fuba okulaba nti obuvubuka bwo obuzuukisirizaamu ebirungo byonna ebikulimu nga weetegekera obulamu bwo obw’omu maaso. Jjukira nti ggwe nsibuko y’obuwanguzi bwo.

ENNYINGO IV

OKWEGATTA MU MUKWANO

Ekimu ku birungo Omutonzi bye yatuwa kwe kwagala. Ekirungo kino bw’otokikozesa bulungi mu bulamu bwo, bufaafaagana nga entungo eyiika. Okwagala kwa ngeri nnyingi (engeri ezo tezigenda kwogerwako wano). Waliwo okwagala abantu kwe balabira mu kwegatta mu mukwano. Weewaawo nga okwegatta kabonero akalaga okwagala, emirundi mingi ensonga eno si bw’eba; abantu abamu obukaba oba obwenzi kye bayita okwagala. Weegendereze okulaba nga ekirungo kino okitegeera bulungi.

Omugaso gw’okwegatta mu mukwano.

Katonda yatuwa ekirabo ky’okwegatta mu mukwano nga agenderera ensonga ssatu: esooka, nti y'emu ku ngeri omusajja oba omukazi gy'ayinza okulagamu munne okwagala, eyookubiri, okuzaala n’okwala, n’eyookusatu kwetangira obutayonoona mu maaso ga Katonda. Katonda yateekawo amateeka agafuga ekikolwa ekyo; agamba nti ekikolwa kikolebwa abo bokka abafumbo ng'ekiruubirirwa kye kiri nti, olw’okuba ekikolwa ekyo kiyinza okuvaamu abaana, buli mwana azaalibwa alina okubaako kitaawe era n'ennyina, abalina okutwala obuvunaanyizibwa okubalabirira.

Bw’otyo nno, osaana okulaba nti singa osalawo okwenyigira mu kikolwa ekyo, ebikivaamu byonna oteekwa okubigumira. Weewaawo kimanyiddwa nti amaanyi g'obutonde agatusindika okukola ekikolwa ekyo go ga maanyi naye ate ffe tulina okugafuga era n'okwekomako buli kiseera. Tekibuusibwabuusibwa, buli muntu alina obusobozi bw’okwetangira, okwefuga n’okwekomako.

Abavubuka abamu bo bagamba nti, obanga bazaalibwa n'obusobozi ate nga bagamba nti, "it is a lot of fun" noolwekyo bateekwa okukikola wonna we baagalira. Ggwe olowooza otya? Okwewulunta okwengeri eyo kusobola okuvaamu ebizibu bingi, gamba nga okufuna embuto ezitali nneetegekere, okuwalirizibwa okufumbirwa omuntu gw’otandyagadde, okwo nga kw'otadde n'okukwatibwa endwadde ezitali zimu, naddala ezo ez'ekikaba. Abawalajjana bangi bawakankula embuto ezitali nneeyagalire. Era nga bangi baziggyamu. Abo abatali "ba mukisa" bayitirayo, ne bafa. Abalala bambi abalemererwa okuziggyamu bazaala ‘obwana’ obwo era ne babonaabona nabwo oluusi nga bakitaabwe tebabamanyi, kubanga baabakiranga buli gwe basanga!

Obufumbo obukake obukasi bulimu obulumi, tebunyuma era oli abuyingiramu bw’atyo ayinza okukaaba ebbanga lyonna ly’abumalamu so ng’ate yandibadde abeera mu kusanyuka ne munne.

Mu kusooka, okutijja nga kukyaliwo era buli omu ng'agamba munne nga bwatalya era bw’atanywa nga tamulabyeko, n'abalala mbu babasuza ku mpagi nga omutwalo, biba byangu, kubanga wano buli omu afuba okulaba nti obuyisa bwe bwonna obuvundu tabulaga munne naye bwe mumala okumanyiiragana, ng'olwo bw'olaba munno ng'ennyindo bwe yamusongola, olwo emimwa gye otandika okugiraba nga bwe gikirako emigo gy'entamu, n'olaba bw’atavaako nnusu, bw’ali omuyombi, bwe yeeronda nga obukya, era ekiva mu ekyo nnyombo na nsambaggere!

Kimanyiddwa nti bavubuka bannaffe be tubeera nabo naddala abo abeetaba mu "bibanda" bamanyi "okuyeeyereza" bannaabwe nga babagamba nti,"Naye naawe gundi weeyisa nga atali musajja, simanyi endiga yakutomera?" Awo ab'emmeemme enjabayaba nabo beevaamu okulaga bannaabwe nti endiga bo tezibatomeranga! Kitegeerekekere wano nti okwenyigira mu kikolwa ekyo tekirina kye kiraga nti oba ono " musajja nnyo" oba oli si musajja era tekitegeeza nti oyo eyeenyigira ennyo mu kikolwa ekyo musajja nnyo okukira banne! Era tekirina kye kikosa oyo asazeewo okwekuuma okutuusa ye lw’awulira nti yeetegese bulungi era ng'atuuse okwesalirawo, so ate era kino tekirina na kye kikukosa ng'otuuse mu bufumbo bwo.

Abawala musaana mwewale okubeera nga essowaani erirwamu buli muntu. Essowaani bw’eba ng'eriirwamu buli muntu, ne bw’eba nnungi etya, terwa kw'onooneka olw'engalo ziri ezigitigaatiga era erwa ddaaki yonna n’ebongokabongoka, olwo ng'efuuse ekitagasa, n’ekiddirira kusuulwa! Ekirungo ky’okuwangula embeera eno, kiri mu ggwe!

Ekimuli kya Rooza ( Rose flower), kyagalwa buli omu olw’obulungi bwakyo. Ku kimuli ekyo kuliko amaggwa agafumita. Kwe kugamba nti singa ggwe ojja ng'ogabattuka n'omala gaagala okinoge, kijja kukufumita. Singa abawala mubeera ng'ekimuli ekyo!

Ggwe omuwala leka kutunuulira mulenzi akulimbalimba n'obuntuntu obutaliimu olw’okwagala okwegatta naawe! Ate era kimanye nti omukwano ogwa nnamaddala tegukulembeza "kwegatta" wabula kimanye nti ekiseera ekyo ky'olabiddemu “munno” ggwe gw'olowooza okubeera naye gye bujja, kibeere ekiseera eky'okwebuulirira nga buli omu "ndabirwamu" ya munne ku ebyo bye mwagala era ne bye mutayagala. Ekiseera ekyo mukifuule eky'okuyigaŋŋana mu buli nsonga, awo nno ne bwe munaafumbiriganwa tewali ajja kubuusabuusa munne ku ekyo ekyabaagalanya. Kasita ofuna omuntu nga ye akulembeza kiri kya kwegatta, bwe kiba kisoboka mudduke era kimanye nti si mutuufu.

Jjukira nti si kirungi kwagala muntu olw’ekyo oba olw’ebyo by’alina naye mwagale olw'ekyo kye ali. Yagala omuntu olw'okuba ka tugambe nti, muntu wa mu bantu, wa mpisa, si mwewulize, si mwewaanyi, muyonjo, ayiiyiza banne, n'empisa endala nnyingi z'oyinza okwegomba ku muntu.

Omuntu ayinza okwebuuza nti olwo abatalina mpisa ezo ze tumenye bo tebalina kufumbirwa oba kuwasa? Basobola okuwasa n’okufumbirwa naye jjukira nti, abantu ab’empisa ez’engeri emu batera okunoonyaayo bannaabwe ab’empisa ez’engeri eyo be bakwana. Awo nno empisa zo bwe zinaaba ensiiwuufu, n’emikwano gy’onoofuna gijja kuba bwe gityo.

Awo nno si kirungi era si kya mazima kwagala muntu olw'ebyo eby'ensi nga emmotoka, sssente...., n'okusingira ddala ssente; kiba kitegeeza nti singa ssente ezo ziggwaawo naawe ng'omuntu omukyawa gw'ate oba ze waba wamwagalako! Ate kimanye nti ssente mugenyi zijja ne ziddayo. Waliwo akagero akagamba nti, Obwavu bwe bukonkona ku luggi, okwagala kufuumuukira mu ddirisa. Kino okirowoozaako ki?

Singa omala ne weebuuza nti lwaki obufumbo bw’ensangi zino tebuwangaala? Emu ku nsonga eyinza okunnyonnyola ekibuuzo ekyo y’eyo eyogeddwako mu kiba ekyo waggulu, kwagala muntu olw’ebyo by’alina. Mu butuufu kuno tekuba kwagala wabula kwegomba okubi.

Ekirungo ekikulimu ekiyinza okukuwanguza mu mbeera eno bwe bwetangize n’obugumiikiriza. Bw’onoobeera omwetangize ate n’ogumiikiriza ojja kusobola okukuuma obutukuvu bwo. Obutukuvu kitegeeza omuwala oba omulenzi atalabanga ku musajja. Omulenzi omutukuvu ayitibwa endawule ate omuwala omutukuvu ayitibwa enteeka. Weewaawo nga empisa (oba ekirungo ky’)obutukuvu kifaanana okuba nga tekikyakulembezebwa nnyo nga bwe gwali edda, kirungi ggwe nga omuntu omu okukuuma ekyo eky’omuwendo ggwe kye weetegeddemu era kye weerabamu. Kyokka naawe eyawabizibwa edda, osobola okutandika okuva ne kaakano, ne weefuula endawule oba enteeka mu nneeyisa yo. Ne Katonda yennyini asanyukira abeekuba mu kifuba ne badda gy’ali era ye talina gw’agoba mu maaso ge.

Awo nno weezuukuseemu ekirungo ekyo, osobole okuwangula mu nsi nga tojaajaamya kirungo kya kwagala ekyakutonderwamu olw’okukugasa ggwe.

ENNYINGO V
MWANA MUGIMU

Emirundi egisinga ebintu bye twogera, engeri gye tweyisaamu, n'ebintu bye tukola tubiggya ku bakadde baffe ne mu mbeera ez’enjawulo ze tujja twolekezebwa ne ze twolekera. Gamba, amasomero, emikwano, ekitundu gye tukulira oba gye tubeera, n’abazadde. Naye okusinga ennyo mu maka ne mu masomero. Mu ngeri y'emu n'ebyo bye twogera biraga kye tuba tulowooza mu mirowooza gyaffe, ne kye tuba tufaanana mu mpisa zaffe, sinakindi ne kye tulibeera mu maaso eyo. Kino kiri bwe kityo lwa nsonga nti ebintu bye twogera oba bye tunyumya eka ssaako n'ebyo bye tukola bye bitufuula kye tuli. Ne bakakensa abanoonyereza ku mmeeme z'abantu n’emirowooza gyabwe (Psychologists) batugamba nti ebintu abantu bye bakola tebiva mu bbanga wabula biva mu maka mwe babeera, abantu be boogera nabo, mu ddiini gye basoma, amasomero gye basomera, mu mbeera endala zonna ze bayitamu. Nze Bayibuli gye nzikiririzaamu erimu olunyiri olugamba nti: Omuntu omulungi aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi; n’omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe okukola ebibi (Matayo 12:35). Kyongera era okulumirizibwa bulijjo nti omuntu tayinza kugaba ky’atalina – bwe kityo nno bw’oba nga onoobeera omuntumulamu, olina kuva wansi ng’otendekebwa oba nga weetendeka n’osobola okugabira banno ebyo bye weekulaakulanyizzaamu oba bye bakukulaakulanyizzaamu.

Abavubuka bangi tebaagalira ddala kuwuliriza ebyo bakadde baabwe bye babagamba, nga bagamba nti bakadde baabwe bakaddiye nti era bawedde ku mpagala era tebakyali ku mulembe, noolwekyo tebalina kubuulirira kwonna kuzimba kwe bayinza kubawa mu eno ensi ekyuka nga obudde. Mu kino beerabira nti, "bukadde magezi..." ; nti era, "eriiso ly'omukulu awaddugala we walaba". Omuvubuka akulidde mu mbeera ey'engeri eyo kimuviiramu okufuna omuze gw’obutasobola kugoberera mateeka gabeera mu kitundu ky'ewaabwe oba mu nsi yonna okutwaliza awamu kubanaga ye byonna aba abiraba nga obutaliimu.

Weewaawo kiri bwe kityo eri abavubuka naye ate waliwo n'abazadde abatafiirayo ddala ku kubuulirira baana baabwe wadde okubakangavvula. Omuzadde ye ayinza okulowooza nti omwana okumukuza nga tagambwako, era nga tanenyezebwa, takola mulimu gwonna awaka mbu olwo baba boolesa okwagala eri abaana baabwe. Kino abazadde bakinyweza nga bakozesa bakozi bokka mu maka gaabwe. Omuzadde addira omwana n'aba nga takkirizibwa wadde okwoza essowaani oba ekikopo, so abamu n'obuwale bwabwe obw'omunda ensangi zino babubooleza bwoleza! Omuzadde yandirowooza nti aba alaga mukwano eri omwana we, naye ekituufu kiri nti, omwana oba omusimira entaana mwagenda okwebaka ng'akyali mulamu! Abakozi balungi era bayamba ewaka, naye n’abaana bateekwa okutendekebwa emirimu gyonna egisoboka.

Mu nsi muno ani yeegomba ngalobunani? Ekyewuunyisa kiikino, omuzadde bw’aba anoonya omukozi ow'okumukolera mu maka ge agamba nti ayagala oyo omujagujagu asobola okwanguya emirimu; oli awo we yeebuuliza nti olwo n'oyo gw'ogamba okuba omujagujagu singa teyatendekebwa kukola mirimu mu bwangu wandiggye wa omukozi? Manya nti n'abo b'okozesa baatendekebwa butendekebwa so tebaatonnya butonnyi ku nsi ng'emirimu bagimanyi! Bulijjo ekintu ekitakusomeseddwa kuva buto kizibuwala okuyiga obukulu (naye sigamba nti tekisobola kuyigika). Wano soogera ku byamagezi ag'omu bitabo naye ŋŋamba emirimu egy'emikono ng'okulima, okwoza, okufumba, okwera oluggya, okusiimuula ennyumba, okwoza ebintu n'emirimu egiringa egyo.

Ekirungo ky’okuyiga emirimu egy’enjawulo ffenna tukirina. Kye tulina okumanya kye kino nti ffenna tetusobola kukola mulimu gundi mu ngeri y’emu, buli omu alina ky’asobola okukola okusinga ku munne; naye nga waliwo emirimu egyawamu ffenna gye tusobola okukola obumu, okugeza okufumba, okwoza engoye, okulima, okwoza ebintu ebiriirwamu, okuyonja n’okulabirira abaana n’ebiringa ebyo. Omuvubuka wa leero, osaana weewale okubeera awo ng'oli ngalobunani, wabula weeyigirize okukola buli kimu, nga ne mu kiyungu/ffumbiro weetuukirayo, oleme kulinda buli kimu kukikusanza ku mukeeka. Njagala okukiggumiza wano nti, Ekirungo ky’obuwanguzi kiri mu ggwe!


ENNYINGO VI
OBUYONJO
(Essuula eno omuwandiisi yagizimba ne Kiriggwajjo Anatole)

Obuyonjo kye ki? Kubeera na ngoye zo nga zitukula, oba kubeera mu kifo nga kinyirira era nga kisanyusa akiraba? W’onoomalirako ennyingo eno ng’okizudde nti obuyonjo busukka ku “kutukula obutukuzi!”

Katonda bwe yatonda omuntu yamuwa ebitundu by’omubiri byonna bye yalaba mu magezi ge nga bya kumugasa. Ebitundu by’omubiri ebyo yabikolera mu miyungiro (bukolaganyi) mwe bikolera, si nsonga oba biri kungulu oba munda w’omubiri. Bwe tutyo, ebirungo by’obuwanguzi ozaalibwa nabyo, biri mu ggwe!

Tulina ebitundu ebirabwako: omutwe, enviiri, amaaso, amatu, ennyindo, olulimi, amannyo, obulago, ensingo, ekifuba, olubuto, omugongo, bbunwe, akabina, ebitundu ebitalaalaasibwa (ebyekyama), amagulu, ebigere enjala n’ebirala. Byo ebitundu ebiri munda mulimu: obwongo, omumiro, ebyenda, emisiwa, omutima, enkizi, amawuggwe, akalulwe n’ebirala. Bw’oba nga oyagala omubiri gwo gukuweereze, oteekeddwa okugulabirira era n'okugufaako awatali kugugalabanja wadde okusuulirira ekitundu n'ekimu. Bw’olagajjalira ekitundu ekimu, omubiri gwonna gwandirwala!

Tulina okuvunaanyizibwa ku bitundu ebyo, nabyo bisobole okutuyamba. Obuvunaanyizibwa bwaffe ku bitundu ebyo bwa muwendo nnyo ffe okubeera abalamu era ab’omugaso. Omuntu bw’ataba na buvunaanyizibwa ku bitundu bye ebyo, tayinza kuba mulamu, tayinza kukola mirimu, tayinza kugaggawala, era tayinza kwesiimira wadde okweyagalira mu mbeera yonna. Okutwaliza awamu; tayinza kuwangula!

“Buli ggwanga n’ebyalyo,” bwe kityo bwe kiri ne ku bitundu by’omubiri. Buli kimu ku bitundu ebyo kirina engeri gye kifiibwako mu ngeri yaakyo; mu buli ggwanga, okusinziira nga eggwanga eryo bwe likkiriza era nga bwe liraba eby’omuwendo mu bye bakola. Ggwe omanyi bulungi engeri Abaganda (eggwanga lyo) gye bakkirizaamu okulabirira ebitundu by’emibiri gyabwe? Bintu ki bye bakulembeza mu kweyonja n’okubeera abalamu? Byefumiitirizeeko. Waliwo amawanga agatwala okuwummula buli kitundu kya mubiri nga kya muwendo. Atali wa ggwanga eryo yanditunuulira omuntu oyo nga omucaafu, atanyirira!

Tekibuusibwabuusibwa nti buli muntu yenna mu nsi asanyukira: omuntu alabika obulungi, omuntu ali obulungi, omuntu alina amaka agalabika obulungi – amayonjo, omuntu alabikirako omubiri omulamu, omuntu eyeeyonja – enviiri, engoye, engatto n’ebirala. Tekikoma awo, ne bw’ogenda ku mirimu, abakozesa banguyira nnyo omuntu alabika obulungi – omuyonjo, omulamu, era ow’amaanyi kwe kugamba, omuntu asanyusa okulaba.

Mu ngeri y’emu, abantu ffenna tusanyukira era twagala nnyo omuntu ow’obwongo obwogi, omuntu alina ebirowoozo ebirungi – ebizimba era ebiyamba okuggya bannaabwe mu buzibu; abantu baagala omuntu avaako ebisanyusa gamba nga mu ngeri ya katemba.

Bo abavubuka banyumirwa nnyo abacanzi b’omupiira; abayimbi nnakinku n’abali nga abo.

Abantu abo basobola batya okutuuka ku kukulaakulanya ttalanta oba ebitone byabwe okutuuka awo? Bino byonna bisoboka; bisoboka na bulamu bulungi, bisoboka na kweyonja omubiri ne gubeera mulamu – ne gusobola okukuweereza mu ngeri gy’oyagala.

So ate era twagala nnyo ebintu ebiva mu bantu bano: ababazzi, abasiizi b’ebifaananyi, abazannyi ba filimu n’abalinga abo.

Naye abaffe, okkiriza nti ebintu ebyo byonna ebisanyusa bisoboka na buyonjo na kulabirira bulungi mubiri? Okkiriza nti omubiri gwo osobola okugukozesa buli kintu kyonna kye weetaaga? Okisobola otya?

Amaaso gaffe gatuyamba: okulaba, okwegomba, okuyiga, okulaga ekkubo, okunyumya, okusoma…; amatu gatuyamba: okuwulira, okutulabula…; emikono gituyamba: okukwata, okusitula, okulima, okudduka obulungi, okuluka, okuwaata, okwoza, okuvuga ebidduka, n’ebirala. Go amagulu gatusobozesa: okutambula, okudduka, okuzina, okuvuga ebidduka n’emirimu emirala. Ebitundu by’omubiri gwo obyeyambisizza bulungi era obirabirira bulungi okusobola okukuweereza n’okuweereza abalala?

Ye ka mbuuze: okimanyi nti ebitundu by’omubiri gwaffe bikolaganira wamu mu miyungiro gyabyo era nga ekimu bwe kiba tekirabiriddwa bulungi kiyinza okuviirako omubiri gwonna obutasobola kukuweereza? Ebitundu by’omubiri byonna bikolaganira wamu era bisaana okufiibwako nga bwe biteekwa ate mu bwenkanyi bwabyo.

Ebyo byonna bye weetaaga okuba omuyonjo, okuba omulamu n’okubeera mu bulamu obweyagaza era obukuwanguza obirina. Ebintu ebyo obirina mu Uganda ne mu Buganda. Eky’okusaalirwa kye kino nti, ebintu ebyo tofaayo bufi kubimanya na kubitegeera nga bwe tuyinza okubyeyambisa okutugasa n’okugasa abalala. N’olwobutamanya obwo, ffena kye tuvanga tulwala endwadde ze tuvumirira ennyo era ze tusaasaanyizaako ennyo ensimbi oluusi ne zituviirako okufa.

Weebuuze bino: ddala tosobola kutangira kinyaga (kkolera)? Ye kkolera ava ku ki? Tosobola kutangira mulalama? Tosobola kutangira bulema, kafuba, kookolo, mukenenya, ssennyiga, ekifuba, entunnunsi, amabwa g’omu byenda, omusujja, omutwe, olubuto, omugongo? Ndwadde ki gy’oyinza okwogerako nga tosobola kugitangira?

Tulina omukisa wano mu Afrika n’okusingira ddala mu Uganda nti buli kimera na buli mmere ebitangira wamu n’okuwonya endwadde n’obulema oba obulemu bwonna ku mibiri gyaffe tubirina. Ekizibu kiri nti ebintu ebyo tetubifaako, tetubimanyi, era tubinyoomera mu butamanya obw’ekitalo.

Obutamanya obwo butukuumira mu ndya embi etuuka n’okucaafuwaza emibiri gyaffe munda, kubanga tetusobola kulya mmere eyinza kunaaza na kugogola mibiri gyaffe. Ggwe obadde okimanyi nti munda mu mibiri gyaffe namwo mucaafuwala?

Kyekyo nno nti obuyonjo tulemenga kubukomya ku mibiri gyaffe, ku ngoye, ne mu bisenge gye tusula yokka wabula ne mu bye tulya.


By’olina okukola okukuuma omubiri gwo nga muyonjo era nga mulamu

Omubiri okuba omulamu era omuyonjo gwetaaga kuliisa bulungi; kuliisa mmere erimu ebiriisa omubiri. Omubiri bwe gubeeramu ebiguliisa, obujjanjabi obusinga omuwendo oba omaze okubufuna.

Emmere eyeetaagibwa mu mubiri y’eno: emmere enyiriza omubiri; emmere empamaanyi nga kasooli, amatooke, obulo, lumonde, muwogo; emmere enzimbamubiri nga amata, ebibala, ; emmere enzijanjabi nga ebibala, amata, ; n’eminnyo. Emmere eyo yonna tugirina mu Buganda.