Typecraft v2.5
Jump to: navigation, search

Xx.

Kkapa esooka n'ewulira ekiwuka nga kizannyira mu nju. Oluvannyuma eyagala okukikwata. Ebuukabuuka naye nga buli kantu k'egezaako okubuukirako ekakoona ne kagwa wansi. Erinnya ku ntebe. Ebuuka ekakwate. Akawuka kagirema. Oluvannyuma etunuulira omusajja. Yeebuuza lwaki tali mu kugifaako. Akawuka kongera okukaabira mu nju. Ekatunuulira, n'ekatunuulira mu 'angles' zonna. Ebuuka okukakwata. Ebintu by'ebuukirako bigwa. Akawuka kongera okukaabira waggulu. Yeekweka emabega w'entebe. Akawuka kakaaba. Ejja ng'esooba okukakwata. Eremwa okukakwata n'ebuukabuuka n'ekagoba n'ekagoba. Kagiddusa ne keetooloola. Oluvannyuma kkapa ejja wansi awali akawuka. Ekakwata n'egezaako okukakuba n'ekigendererwa eky'okukatta. Ekakuba n'emikono gyayo egyomumaaso. Ekakuba n'ekakuba n'ekakuba. Etuuka ekiseera n'ebeera convinced nti kafudde. Egenda ne yeekweka wansi w'ekitabo. Egezaako okukakanga erabe oba ddala kituufu kafudde. Wabula n'etandika okwebuuza nti "ki kino kye nzise?" Okusinziira ku bubonero bw'ekozesa ebuuza ekitabo kigibuulire. Naye ekitabo tekiginyega. Ky'ekola n'ekwata akawuka n'emimwa gyayo. Ekasuulira omusajja eyali atudde mu ntebe. Emukoonako nga bw'emubuuza agibuulire "kaki kano?" Omusajja taginyega. Eyongera okumubuuza. Kye yakola akawuka n'ekasuula mu kamwa k'omusajja. Oluvannyuma omusajja n'awulira nga waliwo ekitagenda bulungi mu maaso. Atandika okubuukabuuka nga yeebuuza ky'abadde. Kkapa emutunuulira n'emutunuulira. Ekozesa obubonero okumubuuza. "Ako ke nkusudde mu kamwa bakayita batya?" Omusajja yeekwata ku lubuto nga tamanyi bigenda mu maaso. Awo we bikoma.